2 Corinthians 12:2-4

2 aWaliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi. 3Era mmanyi ng’omuntu oyo, oba mu mubiri oba ng’aggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi, 4 bnga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda n’awulira ebintu bingi eby’ekyewuunyo omuntu by’atakkirizibwa kwatula.
Copyright information for LugEEEE